Ecclesiastes 10

Omugezi n’Omusirusiru

1 aNga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
2Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
3 bNe bw’aba ng’atambula,
amanyibwa nga talina magezi,
era buli amulaba agamba nti musirusiru.
4 c Mukama wo bw’akunyiigiranga,
tomulaganga busungu;
okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.

5Ekibi ekirala kye nalaba,
kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
6 dnalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
7 eAte nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.

8 fAsima ekinnya alikigwamu,
n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
9 gOyo ayasa amayinja gamulumya,
n’oyo ayasa enku zimulumya.

10Embazzi bwe tebaako bwogi,
n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
naye obumanyirivu bwe buwangula.

11 hOmusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
omufuusa talina kyafunamu.

12 iEbigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14 jOmusirusiru asavuwaza ebigambo.

Tewali amanyi birijja,
kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?

15Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.

16 kZikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 lOlina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.

18 mObugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.

19 nEkijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
ne wayini yeeyagaza obulamu,
naye ensimbi y’esobola byonna.

20 oTokolimira kabaka mu mutima gwo
newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
Copyright information for LugEEEE